Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero; “Omugenzi Jacob Oulanyah yatandika okufuna enkeka mu bulamu bwe mu 2019 bweyazuula okuzimba mu bulago bwe. Yagenda e Bugirimaani nebamulongoosa era nebamutegeeza nti yali kkookolo.
Yatandika obujanjabi era nabumaliriza ku Uganda Cancer Institute. Wabula nga 23 January, yaweebwa ekitanda e Mulago, gyeyalina okubeera okumala wiiki bbiri nga bwebamutegeka okumutwala ebweru w’eggwanga. Yagenda mu malwaliro agawerako, wabula yasumbuyibwamu mu kaseera k’omuggalo wamu n’akalulu natasobola kugenda mu ddwaliro.”