Omuwagizi wa NUP asindikiddwa e Luzira lwakujaganya nga Gen. Tumwine afudde

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omuwagizi wa National Unity Platform – NUP Teddy Nambooze asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwakujaguza kufa kwa Hon. Gen Elly Tumwine – MP. Oludda oluwaabi lugamba nti nga 23-August-2022 mu Ndeeba ekisangibwa mu Rubaga, Nalubowa ngatalina nsonga yonna yasimba emuwaliriza kukozesa mutimbagano, mubugenderevu emirundi egiwerako yateekayo akatambi ku mikutu gye nekigendererwa ekyokutaataganya eddembe lya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ngajaganya okufa kwa Gen. Elly Tumwine nagattako nti ne Pulezidenti Museveni naye yali wakufa.
Wabula Nalubowa ategeezezza Kkooti ebadde ekubirizibwa omulamuzi w’eddaala erisooka Marion Mageni nti obubaka bwonna bweyateeka ku mikutu gye yabukola atamidde era tabujjukirra.
Bwetyo Kkooti newandiika nti omusango agwegaanye, olwokuba ono tabadde na munnamateeka yadde omuntu amweyimirira, asindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa nga 26-September-2022.
Share.

Leave A Reply