Omutuuze yetuze e Iganga

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Abatuuze mu Iganga Municipality baguddemu ekyekango bwebasanze mutuuze munaabwe Musa Lule aka Small Bird nga yeyimbyemu ogwakabugu. Bino bibadde ku kyalo Nakavule Lubaale mu Iganga Central Division mu maka g’Omwami Kaboggoza Mawazi. Omu ku b’Oluganda lwa Lule abadde agenza okumubuuzaako yagudde ku mulambo ggwe nga gulengejjera ku muguwa.
Uganda Police Force y’e Iganga ezze netwala omulambo mu Ggwanika ly’e Ddwaliro ly’e Iganga okugwekebejja okumanya ekimuviiriddeko okufa.
Bya Willy Kadama
Share.

Leave A Reply