Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 150 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Omuntu omulala afudde ekirwadde kya Ebola e Jinja – Minisita Aceng

November 13, 2022 · Mubiru Ali
Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omuntu omulala eyafudde ekirwadde kya Ebola ku kyalo Kayalwe B village, Buyengo sub-county, mu Disitulikiti y’e Jinja.
Kigambibwa nti omusajja ono ow’emyaka 45 yandiba nga yasisinkanako ku muganda we naye eyaffa ekirwadde kino nga 3-November nga yali w’e Rubaga eyalwalira enaku 10 nafiira e Jinja gyeyali alaze.
Muganda we ye yafudde nga 10 – November nga yafiiridde mu maka ge naziikibwa nga 12 November.
Omulambo gwe gwagibwako sample abasawo ku ddwaliro lya St Catherine Medical center, Luzinya Buwenge, eddwaliro lyobwannanyini gyeyagenda okufuna obujanjabi nga tanafa.
Batandise omuyiggo gwabo beyasisinkano.
Minisita akubirizza Bannayuganda okubeera obulindaala era nasaba abo abayinza okuba nga basisinkanako ku muntu omulwadde wa Ebola obutadduka, wabula okugenda ku Ddwaliro lya Gavumenti eri bali okumpi mu bwangu bafune obujanjabi. #EbolaOutbreakUG