Omumyuuka w’omuduumizi wa Poliisi alambudde Poliisi ya CPS mu Kampala

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP Maj. Gen. Tumusiime Katsigazi olunaku lweggulo yalambudde Poliisi ya CPS mu Kampala, yasisinkanye abaduumiizi ba Poliisi mu Kampala n’emiriraano.
Ono yalambuziddewa ebintu ebyateekebwawo okutumbula ebyokwerinda omuli; CCTV Monitoring centre, wamu n’ekizimbe ekyayononebwa bbomu ezakuba mu Kampala. DIGP yalagidde Director Logistics and Engineering okulaba nti endabirwamu ezayatika ziddizibwamu wamu n’okukola okudaabiriza okutonotono nga bwebalindirira ensimbi zokudaabiriza ekizimbe kyonna.
Oluvannyuma yasisinkanye Abaduumizi ba Poliisi mu Kampala n’emiriraano nga baduumirwa SCP Tanui Steven. Oluvannyuma yasisinkanye ttiimu ku Central Police Station neboogera ku nsonga zokuddukanya Poliisi. Ono yategeezezza nti waliwo obwetaavu bwokulongoosa ekifaananyi kya Poliisi nga balwanyisa enguzi eva mukusaba abantu ssente okuteebwa ku kakalu ka Kkooti. Ono era yabalabudde ku kusuulirira emirimu gyabwe nga bayitiddwa abantu okubayamba.
D/IGP yategeezezza nti nokwonoona kkamera wamu ne waya zaazo kweyongedde ekiremesa Poliisi okukola emirimu gyayo. Yasuubizza okulaba nti embeera yaba Poliisi gyebabeeramu ku CPS ne Poliisi yonna etumbulwa.
Share.

Leave A Reply