OMUKULU W’ESSOMERO E WAKISO ASIMBIDDWA MU KKOOTI

Abayizi 6 okuva mu Real Infant Primary School erisangibwa e Wakiso bavuddeyo nebalumiriza omukulu w’essomero Didas Mpagi aka Bakulu nti abadde abakozesa ngayita gyebafulumira obubi.
Mpagi avunaaniddwa emisango okuli okukusa abaana wamu n’okubakozesa.
Obujulizi obuleeteddwa mu International Crime Division Court bulaga nti Didas abadde atwala abaana abalenzi mu kisulo kyabwe nabalagira okumunuuna ebitundu bye ebyekyaama nokumuweweeta n’oluvannyuma nabebakako nga ayita gyebafulumira obubi ekikontana n’obutonde.
Kigambibwa nti ono yalimba beyakozesa nti Gavumenti yayisa ekiragiro kyokuyigiriza abaana abalenze ekikolwa kino.
Kkooti era bagitegeezezza nti ono yayawuddwa ne mu kaduukulu oluvannyuma lwokwoleka ebikolwa ebyamaddu ku basibe banne abasajja.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply