OMUBAKA SSEGIRIINYA MUYI – HON. ZAAKE BUTEBI

Omubaka wa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi avuddeyo nategeeza nga bwagenzeeko mu Kkomera e Luzira okulaba ku Mubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Muhammad Ssegiriinya aka Mr Updates nti era akyali ku kitanda mu ddwaliro ly’e Kkomera.
Ono agambye nti embeera omubaka gyalimu yeralikiriza nga azimbye mu bitundu byomubiri ebyenjawulo. Ono agamba nti n’okwogera akozesa amaanyi mangi nnyo era mu bulumi.
Ayongeddeko nti Omubaka amaze enaku 3 nga talya oluvannyuma lwabasirikale be Kkomera okugaana ab’oluganda lwe okumuleetera ebyokulya nebikozesebwa ebirala. Agamba nti Omubaka yetaaga okutwalibwa afune obujanjabi mu bwangu.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply