Omubaka Ssegiriinya Kkooti emunoonya

Omulamuzi wa Buganda Road Marion Mangeni nga agoberera okusaba kwa State Attorney Iban Kyazze afulumizza ekibaluwa kibakuntumye eri Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Muhammad Ssegiriinya aka Mr. Updates okulabikako mu Kkooti yewozeeko ku musango gwokukuma omuliro mu bantu.
Kyazze ategeezezza Kkooti nti Ssegiriinya abadde alina okulabikako olwaleero mu Kkooti wabula tazze yadde okusindika Bannamateeka be.
Kigambibwa nti nga 22 – March – 2021, ku Mini Price mu Kampala yagezaako okukuma mu bantu omuliro bekalakaase era yakwatibwa nasindikibwa ku alimanda mu Kkomera e Kitalya gyeyamala wiiki 3.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply