Omubaka Odonga Otto akwatiddwa

OMUBAKA ODONGA OTTO AKWATIDDWA:
Omubaka akiikirira Aruu County mu Palamenti Samuel Odonga Otto akwatiddwa olunaku olwaleero mu Kibuga Gulu. Otto yagiddwa ku Bomah Hotel mu Kibuga Gulu bwabadde ali mu gym nga akwatiddwa Francis Olugu, Deputy Director for Criminal Investigations.
Olugu ategeezezza nti Otto akwatiddwa lwa misango egyamuvunaanibwako gyebuvuddeko okuli; ogwokulumya n’okwonoona ebintu e Pader mu 2018, okusangibwa n’emmundu gyatalina kubeera nayo mu mateeka wamu n’okulumya Bannamawulire mu 2019 e Gulu bwewaliyo omupiira FUFA Drum ku Pece Stadium, n’emirala.
Olugu agamba nti okukwata Odonga kyakubayamba n’okunoonyereza ku musango gweyawaaba nga alumiriza Uganda Police Force okumuwa obutwa nga ali mu kaduukulu ka Pader Police Post ku ntandikwa y’omwaka guno. Kigambibwa nti yaleeteddwa ku kitebe kya CID e Kibuli mu motoka ya Poliisi enjeru Toyota Hilux nnamba UP 7484 n’oluvannyuma wakutwalibwa mu Kkooti e Pader.
Wakati mukuwanyisiganya ebigambo ne Poliisi okubaddewo ku Aswa River Region Police Headquarters e Gulu Odonga otto agambye nti okukwatibwa kwe omumyuuka w’omuduumizi wa Poliisi DIGP Gen. Paul Lokech, yakuli emabega nga ayagala okumulemesa okusaayo omusango ggwe nga awakanya okulangirirwa kwa Christopher Komakech, eyawangula ekifo ky’omubaka wa Aruu County, gwagamba nti mukwano nnyo ggwa Gen. Lokech.
Muganda we Tadeo Oloya Otto naye akwatiddwa kubigambibwa nti abadde alemesa Poliisi okukola omulimu gwayo oguli mu mateeka.
Ono akwatiddwa ku Aswa Police Headquarters bwabadde akuba ebifaananyi bya Odonga Otto nga ali ku Poliisi nga kati akuumirwa ku Gulu Central Police Station.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply