Omubaka Kagabo ayawukanye kubyasaliddwa NUP

Omubaka wa Bukoto South Twaha Kagabo, ye Mubaka yekka Munnakibiina kya National Unity Platform eyetabye mu lutuula lwa Palamenti olubadde e Kololo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mwasisinkanidde Ababaka okwogera ku nsonga enkulu mu Ggwanga.
Kagabo ayawukanye kukyasaliddwawo akola nga akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Medard Lubega Sseggona bweyategeezezza nti bbo ku ludda oluvuganya Gavumenti babadde tebagenda kwetaba mu lutuula luno.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply