Oluguudo olwakakolebwa e Mbale lubbomose

Ebyentambula bisanyaladde mu kibuga ky’e Mbale ku Nabuyonga Rise ekitundu ku luguudo luno bwekigaddwa oluvannyuma lw’okubbomoka nekirekawo ekituli ekinene. Kinajjukirwa nti oluguudo lwatongozebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni emyaka 3 egiyise era nga lukola nga bypass eyitwamu ebimotoka ebinene nga lwakolebwa mu 2019.
Luno lwakolebwa Gavumenti ya Yuganda wansi wa Municipal Infrastructure Development (USMID) programme n’obuyambi bwa buwumbi 26 okuva mu World Bank.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply