OGWA KIDANDALA KKOOTI EGUGOBYE

Kkooti Enkulu mu Kampala egobye omusango ogwali gwawawabibwa Sulaiman Kidandala ngawakanya okulondebwa kwa Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP era Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegriiyinya aka Mr Updates nga egamba nti alemereddwa okulaga obujjulizi nti yamuwa empaaba.
Omulamuzi Hennerieta Wolayo agamba nti Kidandala yalemererwa okuwa Ssegiriinya empaaba nga bwekirambikibwa mu mateeka mu kadde weyabeerera ku alimanda mu kkomera e Kitalya.
Omulamuzi ategeezezza nti Kidandala yalina okuwa Ssegiriinya empaaba ye nga ayita mu OC we Kkomera ly’e Kitalya Fred Mugia eyali alina okukubako sitampu ku mpaaba nga akiikirira omusibe gweyalina mu kaduukulu ke n’oluvannyuma Registrar ateeke empaaba eno ku Notice Board.
Mugia mu bujulizi bwe yetegeeza nti tafunangako mpaaba eno era tagiteekangako mukono, wano nno omulamuzi wasinzidde nategeeza nti empaaba teyalina kuteekebwa ku Notice Board kwokka wabula byombi byalina kutambulira wamu.
Omulamuzi alagidde enjuyi zombi okwesasulira ssente ezikozeseddwa.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply