Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 703 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

OC jangu onyonyole oba nga kisoboka okuwa Mabiriizi Yintaneti e Luzira – Mulamuzi

April 21, 2022 · Mubiru Ali

Omulamuzi w’eddaala erisooka Joanita Muwanika owa Kkooti y’e Mengo alagidde Officer in charge (OC) owa Luzira Maximum Security Upper Prisons okulabikako mu kkooti annyonyole oba nga kisoboka okuwa Munnamateeka Male Mabirizi yintaneti, wasobola okukubira ebintu bye mu kyapa wamu n’okubifulumya.

Ono agamba nti Mabiriizi abeera yetaaga okuwaayo okwanukula kwe mu musango gweyawawabira aba Famire ye ng’entabwe eva kunzirukanya y’ebintu bya kitaawe omugenzi Mohamed Bazinduse Lulibedda Mutumba ebisangibwa e Natete. Aba Famire beyawawabira kuliko; Moses Solomon Male Faisal Mutumba, Sophie Nassozi Mutumba ne Hajjat Sarah Mutumba.