Obuyinza bwa Kabaka, Ssemateeka abumanyi – Katikkiro

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Katikkiro Charles Peter Mayiga olunaku lw’eggulo; “Leero ntikudde #LuwaloLwaffe wa Shs52,272,000 okuva mu Gombolola z’e Busiro, Kyaddondo, ne Kyaggwe wamu n’abantu ba Kabaka okuva mu bitundu bya America. Njogedde bwenti:
1. Nsabye Gavumenti egonjoole okusoomoozebwa kwe tulimu ensangi zino: a) okuwozesa abatta abantu mu bwegugungo bwa Nov 2021; b) okutwala abakwatibwa ku gy’obutujju mu kkooti era baleme kuttibwa nga bakwatiddwa; c) obutalowoozesa Basiraamu nti be bamanyi b’amateeka; d) okulwanyisa obwavu nga Gavumenti ewagira Kabaka mu nteekateeka z’okutumbula obulimi; e) okwongera amaanyi mu kugema Lumiimamawuggwe basobole okuggula amasomero
2. Nsabye gavumenti ereme kutondawo bizibu we bitali:
a) Mayiro ssi kye kizibu. Obuzibu: office z’ettaka; Poliisi; Kkooti ; okutongoza ebyobufuzi mu ttaka; n’ebirala.
b) Buganda Land Board yawandiisibwa mu mateeka era emirimu egikolera wansi wa Ssemateeka n’amateeka agafuga kkampuni.
Ate obuyinza bwa Kabaka, Ssemateeka abumanyi.”
Share.

Leave A Reply