Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 284 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

NWSC EGENDA KUZIMBA EKUŊŊAANYIZO LYA KAZAMBI KU DDWALIRO E KIRUDDU

April 22, 2021 · Mubiru Ali
Gavumenti ya Yuganda ne Ministry of Health- Uganda ngeyita mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mazzi ne kazambi ekya National Water and Sewerage Corporation – NWSC bamaliriza enteekateeka eyikuzimba ekkuŋŋaanyizo lyakazambi (hi-tech compact sewage treatment plant) ava mu Ddwaliro ly’e Kiruddu.
Kino kijja kuyamba okutumbula obuyonjo wamu n’ebyobulamu mu Ddwaliro wamu n’ebitundu ebirinaanyeewo. Era kijja kuyamba okukuuma obutonde bw’ensi.
Kisuubirwa nti ekuŋŋaanyizo lino lyakukolanga ku liita 150000 ezamazzi eziba mu kazambi buli lunaku.