NUP eyimirizza abamyuuka b’abakunzi e Jinja

Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga Pulezidenti w’ekibiina kino Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwayimirizza mu bunnambiro ab’amyuuka b’abakunzi 4 ab’ekibiina kino mu buvanjuba bw’eggwanga basobole okubanoonyerezaako ku bigambibwa nti bamenya Ssemateeka w’ekibiina nga bayita ku mikutu gy’amawulire n’Omutimbagano nebatematema mu kibiina n’okuseesa mu njawukana.
Abawumuziddwa kuliko Moses Bigirwa, Muwanguzi Andrew, Bamu Lulenzi, Mukuve Ayagalaki Jamal ne Nsongambi Saulo.
Ekibiina kitaddewo Akakiiko ka bantu 5 okutandika okukola okunoonyereza nga kakulemberwa Hon. Jolly Mugisha, namyuukibwa Hon. Aisha Kabanda, bammemba kuliko; Kanaabi Moses, William Odinga Balikuddembe ne Kassim Fatumah.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply