NUP ewanze eddusu ku wa FDC e Soroti

Ekibiina kya National Unity Platform – NUP kivuddeyo nekitegeeza nga bwekisazeewo obutasimba muntu yenna mu kalulu ka Soroti East Constituency akagenda okuddibwamu obuwagizi bwabwe bwonna babutadde ku Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Hon. Attan Moses.
NUP egamba nti newankubadde babadde nebantu abalungi mu Soroti, basazeewo okwegatta awamu ne FDC okuleetawo enkyuukakyuuka, nti era bakiriza nti yali awangudde ekifo kino mu kalulu akasooka yadde obuwanguzi bwe bwakyuusibwa Kkooti. Ekibiina kisabye abantu b’e Soroti okumuyiira obululu addeyo mu Palamenti.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply