Ekibiina kya National Unity Platform kivuddeyo nekifulumya ekiwandiiko ku kalulu k’e Bukimbiri: “Nga 2-August-2022, NUP yawandiisa Mutabaazi Joshua okukwatira ekibiina bendera ku kifo ky’omubaka wa Bukimbiri Constituency mu Disitulikiti y’e Kisoro.
Wabula oluvannyuma lwokukiriziganya okukolera awamu okuleetawo enkyuukakyuuka, tusazeewo okuggyayo omuntu waffe mu kalulu kano. Nabwekityo tuli bakuwagira Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Hon. Owebeyi James. Nga bwemukimanyi nti mu kalulu k’e Soroti East NUP yawagira Hon. Attan Moses owa FDC, bwetyo ne FDC nesalawo okuwagira owa NUP mu Gogonyo Constituency mu Disitulikiti y’e Pallisa Hon. Okoboi Joseph.
Bino ebituukiddwako biwa essuubi lyokununula eggwanga lyaffe okufa mu bufuzi obwekinammaggye. Tusiima muganga waffe Mutabazi Joshua olwokukiriza nakola ekikola ekyekintu ekikulu mu kadde kano. Weebale nnyo!”
[…] Source link […]