NRM Cadres baagala okulonda kugibwewo Pulezidenti alondebwe babaka

Nampala wa Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM era omubaka akiikirira Ruhinda North County, mu Disitulikiti y’e Mitooma, avuddeyo ku mukutu gwe ogwa twitter ku kiteeso ekitambuzibwa nti Bannayuganda bagibweko obuyinza obulonda Pulezidenti atandike kulondebwa babaka ba Palamenti. Ono agamba nti ekiteeso kino bakirinze mu mu kabondo ka NRM nti era ayaniriza ekiteeso kino kuba kikozesebwa mu nsi ezirimu demokulasiya owekimemette nga; Bungereza, Italy, Canada n’endala nti era bwekinakirizibwa bakutandika okwebuuza ku bantu.
Mu ngeri yeemu aba NRM Transformer Cadres Association nga bakulembeddwamu Felix Adup Ongwech bagamba nti ekiteeso kino kirungi kuba kigenda kumalawo ekyokubba obululu.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply