Nannyini ttaka tolina buyinza bugobaganya wa kibanja – Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannannyini ttaka abagobaganya ab’ebibanja nti tebalina buyinza bubasalako era n’ategeeza nti abo bonna abakola ebyo eby’ejjoogo bagenda kubasesemya.

Omukulembeze w’eggwanga okwogera bino asinzidde ku mikolo emikulu egy’okukuza olunaku lw’abazira egiyindidde mu kisaawe ky’e Ziroobwe mu Disitulikiti y’e Luweero n’ategeeza nti mu ssemateeka wa 1995 , ekiragiro ekifuga ettaka kiri nti Ow’ekibanja asigale ku kibanja kye ng’awa nannyini ttaka obusuulu ate Obusuulu bubaako n’ekikomo ekigerekebwa Gavumenti.

”Nannyini ttaka tolina buyinza busalako wa kibanja, tolina buyinza bumugoba, tewali kumuwaliriza kufuna kyapa, bwaba ayagadde okukifuna wa ddembe, bwaba tayagadde asigale ku kibanja”. Pulezidneti Museveni bw’agamba.

Ku mukolo ogwo gwegumu, Pulezidenti Museveni kw’agabidde emidaali eri abantu abali mu 365 nga mu abo mwemubadde Abayimbi nga Omugenzi Paul Kafeero, Fred Masagazi, Elly Wamala, Hadijah Namale n’abalala,  Bannakatemba,n’abantu abalala.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde ayogerako eri abasuubuzi ku nsonga ya EFRIS; "Nina emyaka 80 natera okugenda mu ggulu. Mwe mukyali bato era mukyalina emyaka mingi ku nsi.  Mwemujja okubonaabona singa tetuteerateekera bulungi Ggwanga lino okubasobozesa okulibeeramu."

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde ayogerako eri abasuubuzi ku nsonga ya EFRIS; "Nina emyaka 80 natera okugenda mu ggulu. Mwe mukyali bato era mukyalina emyaka mingi ku nsi. Mwemujja okubonaabona singa tetuteerateekera bulungi Ggwanga lino okubasobozesa okulibeeramu." ...

11 0 instagram icon
Naye Tumbeetu!?

Naye Tumbeetu!? ...

55 1 instagram icon
Mubiru Ayub nga yali musomesa wa Luzungu ku ssomero lya Educare Junior School e Wakaliga asingisiddwa omusango  gwokukozesa obubi omuntimbago ngaweereza obubaka obuvvoola omukulu w'essomero eryo Mahadi Kayondo nti yali ayesa empiki n'abasomesa be abakyala. 
Ono asingisidwa omusango gw'osasanya amawulire agobukyayi era omulamuzi wa kooti eya Mwanga II Adams Byarugaba namulagira okusasula engagisi ya bukadde 4 mu emitwalo 60 oba okusibwa munkomyo omwaka mulamba. 
Omulamuzi ategeezeza nti ekibonerezo kino kyakuyamba omusomesa okwekuba mu mutima wamu nokukugira abantu abalala abakozesa emitimbagano obubi.
Bya Christina Nabatanzi

Mubiru Ayub nga yali musomesa wa Luzungu ku ssomero lya Educare Junior School e Wakaliga asingisiddwa omusango gwokukozesa obubi omuntimbago ngaweereza obubaka obuvvoola omukulu w`essomero eryo Mahadi Kayondo nti yali ayesa empiki n`abasomesa be abakyala.
Ono asingisidwa omusango gw`osasanya amawulire agobukyayi era omulamuzi wa kooti eya Mwanga II Adams Byarugaba namulagira okusasula engagisi ya bukadde 4 mu emitwalo 60 oba okusibwa munkomyo omwaka mulamba.
Omulamuzi ategeezeza nti ekibonerezo kino kyakuyamba omusomesa okwekuba mu mutima wamu nokukugira abantu abalala abakozesa emitimbagano obubi.
Bya Christina Nabatanzi
...

13 0 instagram icon
Tubuuza Wamma Busolosolo Ki Bwomanyi Ku bakozi Be #Nguudo Eyo Live Kusimba 97.3🤟🤟🤟Wegatte Ku Sureman Ssegawa Endongo Evuge 
#12mayblutkbusulatujjatujja
#1junenimrodbeachluweero
#RadioSimba973

Tubuuza Wamma Busolosolo Ki Bwomanyi Ku bakozi Be #Nguudo Eyo Live Kusimba 97.3🤟🤟🤟Wegatte Ku Sureman Ssegawa Endongo Evuge
#12mayblutkbusulatujjatujja
#1junenimrodbeachluweero
#RadioSimba973
...

2 0 instagram icon
Kkooti Enkulu ewozesa bakkalintalo eya International Crimes Division- ICD mu Kamapala egaanyi okuddiza Omusinga wa Rwenzururu  Irema-Ngoma I Charles Wesley Mumbere, emmundu ye ekika kya basitoola wamu namasasi 30. Bya Christina Nabatanzi

Kkooti Enkulu ewozesa bakkalintalo eya International Crimes Division- ICD mu Kamapala egaanyi okuddiza Omusinga wa Rwenzururu Irema-Ngoma I Charles Wesley Mumbere, emmundu ye ekika kya basitoola wamu namasasi 30. Bya Christina Nabatanzi ...

20 0 instagram icon
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nasaba Bannakibiina okujja Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi mu nsonga ezigenda mu maaso ku bakulembeze abamu mu NUP, nategeeza nti talina kabi konna kuyali amuwuliddeko.

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nasaba Bannakibiina okujja Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi mu nsonga ezigenda mu maaso ku bakulembeze abamu mu NUP, nategeeza nti talina kabi konna kuyali amuwuliddeko. ...

52 2 instagram icon