NAFFE TULI BANNAYUGANDA ABALINA EDDEMBE OKWEYAGALIRA MU NSI YAFFE – BOBI WINE

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Enkya yaleero tubadde tulina okubeera ku Leediyo Wa mu Kibuga Lira n’oluvannyuma twogereko eri Ttiimu yaffe eya Lango Sub-Region. Ku makya ennyo batutegeezezza nti Pulogulaamu yabadde esaziddwamu ku biragiro bya RDC ne DPC. Bannanyini Leediyo bagaaniddwa okutukyaza kuba twabadde tetulina lukusa okuva eri abebyokwerinda!

Twasazeewo tugende twogere ne Maneja wa Leediyo, wabula Police ne Military nebatulemesa wakati mu mukka ogubalagala wamu n’amasasi.

Ndi musanyufu nti abantu b’e Lira bazze mu bungi okutwaniriza. Afwoyo matek!

Ku nsonga y’okusisinkana ttiimu yaffe twawaayo ebbaluwa etegeeza DPC wabula natusindika ewa RPC. Bwetwatuuka ewa RPC yatugamba eno ensonga nene nnyo ku ye nti tugende ewa IGP. Wewuunya okutya bwekuti. Tuli Bannayuganda abalina eddembe ly’obuntu.”

 

Share.

Leave A Reply