Mwanjule ebyobugagga byammwe oba amateeka gabalamule – IGG

Inspector General of Government (IGG) Beti Olive Namisango Kamya avuddeyo nawa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Pulezdienti wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Robert Ssentamu aka Bobi Wine, Ababaka ba Palamenti, n’abakulembeze abalala kwossa n’abakozi ba Gavumenti enaku 30 zokka nga banjudde ebyobugagga bwabwe oba amateeka gabalamule.
IGG bweyabadde ayogerako eri Bannamawulire mu Kampala yategeezezza nti abantu okwanjula ebyobugagga bwabwe byakubaawo mu mwezi gwa March era nga gwakutongozebwa ku lwokusatu mu Kibuga Lira ngomugenyi omukulu y’e Mumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa era nga yajja okusooka okwanjula ebyobugagga bwe omwaka guno.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply