Sanya Muhydin Kakooza, omu ku bawangizi ba Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine abakwatibwa mukunoonya akalulu mu Dec 2021 e Kalangala olunaku olwaleero akangudde ku ddoboozi mu Kkooti y’amaggye e Makindye nga agamba nti tabalina musango gwebazza nti wabula ekituufu kiri nti babavunaana kuwagira Bobi Wine.
Gavumenti egamba nti wakati wa Nov. 2020 ne May 12, 2021 mu bitundu by’e Jinja, Mbale, Kireka, Nakulabye, Kawempe, Natete, Kampala Central, Kakooza ne banne 31 basangibwa nebyokulwanyisa 13 nga bino mu mateeka birina kubeera nabitongole byabyakwerinda.
Kakooza okuva mu mbeera kidiridde Ssentebe wa Kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti okubalagira bazzibweyo ku alimanda kuba omusango ogubavunaanibwa okunoonyereza kubadde tekunaggwa nga bakutandika okuguwulira nga 28-Feb-2022.