Mutandike okusiga, enkuba eweze – Hon. Allan Mayanja

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omubaka wa Nakaseke Central Munnakibiina kya National Unity Platform Allan Mayanja Sebunya avuddeyo nakubiriza abantu mu kitundu kyakiikirira okukozesa akaseera kano nga enkuba bwetandise okutonnya mu bitundu byabwe okusiga ebirimu kuba ke kaseera akatuufu kennyini.
Ono asabye abantu be okukozesa akaseera kano bulungi nga balima ebirimu ebisobola okuvaamu ensimbi ssaako n’okuyamba amaka.
Ono asabye abatuuze mu Nakaseke Central okutuukirira abakulembeze baabwe okuviira ddala ku byalo bafune ensingo za Kasooli ezaweerezeddwa ku buli Ggombolola.
Share.

Leave A Reply