Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 357 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Munnansi wa Congo asibiddwa emyaka 7 lwakusangibwa nankusu

May 13, 2022 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Gladys Kamasanyu awadde Munnansi wa Congo Bobs Mbaya Kabongo ekibonerezo kyakusibwa emyaka 7 lwakusangibwa n’enkusu 122 (African Grey Parrots) oluvannyuma lwokukiriza omusango.
Kabongo yakwatibwa nga 14-April-2022 ku kyalo Kibaya mu Bunagana Town Council mu Disitulikiti y’e Kisoro bwebamukwata n’enkusu zino nga yali aziggye mu Ggwanga eyomuliraano erya Democratic Republic of Congo okuziyingiza Yuganda ngatalina lukusa.
Yali azitadde mu bookisi bbiri ezembawo, Bannamateeka okuva mu Uganda Wild Life Authority nga bakulembeddwamu Kefa Ndeke basabye omulamuzi amusibe emyaka 16 nga bawakanya ekyamayisa ekiri mu tteeka.
Ndeke yasinzidde ku Kabongo okuba ng’omusango aguzizza omulundi gwe ogusooka ate natayonoona budde bwa Kkooti nakiriza omusango. Kabongo yasabye omulamuzi amusonyiwe kuba akyalina obudde obukyuusa ngazzeeyo mu bantu ngakyali mwana muto ku myaka 33.