Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 871 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Munaabe mu ngalo nokwambala mask obulwadde buzeemu – Minisita Aceng

June 5, 2022 · Mubiru Ali

Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng avuddeyo nakubiriza Bannayuganda okunaaba engalo wamu n’okwambala Mask kuba ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lumiima mawuggwe owa COVID-19 azeemu okuwanika amatanga. Ono agamba nti abantu abakoze abali mu myaka 50 n’okudda waggulu wamu nabo abalina endwadde ezolukonvuba basaana bagende bafune booster dose kuba yamugaso nnyo gyebali.
Akubirizza abantu okugenda bagemebwe, obutava ku kwambala mask, okwewala ebifo ebirimu abantu abangi ng’ebivvulu kuba eno obulwadde gyebusinga okusaasanira.
Agamba nti wadde #omicron variant ekyasaasana kitono nti naye yandyeyongera nefuuka eyattabu ekiyinza okuviirako abantu okufa abangi.