Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM mu Disitulikiti y’e Nakaseke bavuddeyo nebatabulira banaabwe bebagamba nti bano bekomya buli nsimbi yekibiina ebaweerezebwa bbo nebatafunamu. Bano bagamba nti waliwo ensimbi obukadde 580 ezabaweebwa Gen. Salim Saleh okunoonya akalulu ka 2021 kyokka zonna bano bazezza era tezakola mulimu gwezalina kukola.
Bano bongeddeko nti singa ekibiina tekiigobe bantu bano baagala kwekusa bokka wamu n’ekya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni obutatuukiriza bisuubizo byakola, abantu bakwongera okukyaawa ekibiina kya NRM.–
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.