Muddeeyo musomese abaana beggwanga – Pulezidenti Museveni

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nasaba abasomesa okwetoloola Eggwanga lyonna okukomya akediimu baddeyo ku masomero basomese kuba Gavumenti netegefu buli mukozi wa Gavumenti okumusasula obulungi. Pulezidenti agamba nti buli omu wakusasulwa bulungi wabula mukadde kano batunuulidde nsonga yabasomesa ba Ssaayansi.

Pulezidenti bino abyogeredde mu nsinsinkano gyabaddemu ne ba mmemba okuva mu Uganda National Teachers Union (UNATU) mu State House, Entebbe. Ono abadde ne Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janet Museveni. Abalala ababaddemu kubaddeko Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi Hon. Muruli Mukasa, omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku masomero ga Pulayimale Hon. Dr. Joyce Kaducu; Ssentebe wa UNATU, Mr. Zadock Tumuhimbise n’omuwandiisi owenkalakkalira mu Minisitule y’abakozi, Ms Catherine Bitarakwate¬† ne Patrick Muhereza.

Share.

Leave A Reply