Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nannyonyola ku bulumbaganyi bwa bbomu obwabaddewo e Komamboga olunaku lw’eggulo.
Enanga agamba nti enjega eno yabaddewo ku ssaawa bbiri n’ekitundu ez’ekiro abasajja 3 abefudde bakasitoma bwebaleseewo ekintu ekyabaluse, omu ku bano yabadde akutte akaveera akabaddemu ebintu ebyalekeddwa wansi w’emmeeza.
Enanga ayongerako nti bano abateeberezebwa okutega bbomu eno babadde basanyukira buli omu era banyumizza ne bakasitoma nebabagulira ebyokulya n’okunywa.
Enanga ayongerako nti bano basoose nebabulawo nebaleka akaveera wansi w’emmeeza wabula nebakomawo nti naye ku mulundi ogwokubiri bwebagenze tebakomyeewo nebaleka ekitereke kyabwe era wayisa akaseera katono newabaawo okubaluka okwakubye square metres 5 ekitegeeza nti bbomu yateguluddwa olvannyuma lwabano okuva mu kifo kino.
Enanga agamba nti oluvannyuma lwokubwatuka abantu 4 bebalumiziddwa okuli; Emily Nyinaneza 20, aweereza mu kifo kino eyafunye ebisago ebyamaanyi ku mutwe, omugongo n’okukugulu okwa kkono nafiira mu kubo nga bamutwala mu ddwaliro. Abalala kuliko; Kiconco, Rose Nakitto ne Peter Ssenyonga abakyafuna obujanjabi.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.