Kkampuni y’ebyempuliziganya eya MTN Uganda olunaku olwaleero eduukiridde omukyala Night Ampurire eyalabikira mu mawulire ga NTV Uganda ngavuga emotoka ekika kya Pickup okutambuza ebibala byatunda ku luguudo lw’e Ntebe okusobola okulabirira abaana be 5, Night yasaba omuzira kisa yenna asobola okumuwa emotoka kuba gyabadde akozesa nkadde nnyo era olwaleero MTN emuwadde emotoka ekika kya Nissan Double Cabin asobole okutambuza emirimu gye.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.