Minisita Nabakooba atabukidde ab’e Fort Portal

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka saako n’okutekeerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba; “E Kasese nasisinkanye abatuuze b’e Karusandara, Busongora. Tuli mu nteekateeka okubafunira ebyapa okusinziira ku kiragiro kya HE Yoweri Kaguta Museveni. Kino kitwaliramu emiruka okuli: Kanamba, Karusandara, Kibuga ne Kyalyanga. Neebaza nnyo Abakulembeze b’ebitundu olwobuwagizi bwebampadde.
Bwenavudde e Kasese nayolekedde Fort Portal ne Mubende okulondoola emirimu mu pulojekiti mu pulogulaamu USMID-AF. Emirimu gino naddala mu Fort Portal gitambula kasoobo ekitakirizibwa. Abakulembeze basaanye basitukiremu.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply