Minisita avunaanyizibwa ku by’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga Hon.
Judith Nabakooba yavuddeyo najjukiza Bannayuganda ku nsonga Pulezidenti
Yoweri Kaguta Museveni gyeyayogerako nga akubiriza Bannayuganda obutasalasala mu ttaka lyabwe kuba olwo liba terikyavaamu nsimbi ziyinza kugasa nannyini lyo.
Bino Nabakooba yabyogeredde ku mukolo gweyakwasirizza abatuuze ebyapa ebisoba mu 1000 e Butalejja era nakubiriza bannanyini ttaka okukozesa obulungi ettaka lyabwe oluvannyuma lwokufuna ebyapa.
Ono yayongeddeko nti Pulezidenti yawadde amagezi abalina ettaka mu Disitulikiti eno okulaba nti bakuumira wamu ettaka nga abafamire era balikozeseze wamu okwekulaakulanya kuba bwebalitematemamu liba terikyasobola kukozesebwa kuvaamu nsimbi.
Minisita era yajjukiza abantu be Butalejja okukuuma entobazi mu Butalejja wamu ne Busoga okutwaliramu awamu kuba zikola omugaso gwamaanyi nnyo mu bulamu bwaffe.
Nabakooba era yasiimye nnyo ekitongole kyobwannakyeewa ekya Uganda Community Based Association for Women and Children’s Welfare (UCOBAC) ne banywanyi baakyo abakoze omulimu ogwettendo okusomesa abantu okukuuma obutonde bw’ensi mu kitundu ekyo.
Abatuuze 1624 mu Disitulikiti y’e Butalejja bebafunye ebyapa nga bayambibwako UCOBAC ngekikolera wamu ne Gavumenti ya Yuganda.
Ye CAO wa Butalejja, Lawrence Ben Marley, yategeezezza nti obukuubagano obwekuusa ku ttaka gyemisango egisinga okuwaabibwa mu Disitulikiti eno, ye Omubaka Omukyala owa Disitulikiti Florence Nebanda yakubirizza abatuuze okufuba okulaba nti bafuna ebyapa ku ttaka lyabwe era babikuume butiribiri.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.