Minisita Lugoloobi agamba Gavumenti eyagala kuzimba ttanka z’amafuta endala

Omubeezi wa Minisita ow’ebyenfuna avunaanyizibwa ku kuteekerateekera Eggwanga Hon. Amos Lugoloobi agamba nti UNOC erina enteekateeka zokuzimba ttanka z’amafuta endala okusobola okutereka amafuta agamala singa eggwanga lifuna akatyabaga k’ebbula ly’amafuta.
Kino kijje omubaka Karim Masaba (Mbale Industrial Division) nga yebuuza lwaki Gavumenti eyagala kuzimba ttanka ndala nga neziriwo kigambibwa nkalu. Minisita Lugoloobi amwanukudde mangu namutegeeza nti Gavumenti ekola kyonna ekisoboka okusobola okugonjoola ekizibu ky’amafuta ekiriwo mu Ggwanga nga agamba nti kyavudde ku mateeka agateekebwawo okulwanyisa okusasaana kw’ekirwadde kya COVID-19.
Bbo Ababaka ba Palamenti basabye Minisitule y’ebyensimbi okuwaayo ssente okulaba nti ttanka z’amafuta zino ziteekebwamu amafuta okusobola okulwanyisa okulinnya kwa bbeeyi y’amafuta.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply