Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 354 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Minisita Aceng agobye abasawo abayambako mu kiseera COVID-19

March 31, 2022 · Mubiru Ali
Minisita avunaanyizibwa ku byobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero avuddeyo nalagira abasawo bonna abaweebwa emirimu okuyamba okutaasa eggwanga nga Bajanjaba Bannansi ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lumiima mawuggwe owa Covid-19 wekyafungira ekyonga basibemu ebyabwe mu bwangu baamuke amalwaliro ga Gavumenti kuba omulimu gwebalina okukola gwaggwa dda.
Abasawo bano nga bayita mu kibiina ekibataba bakombye kwebaze eriibwa nti kikafuuwe tebajja kuva mu malwaliro gano okutuusa nga babasasudde ensimbi zaabwe ez’emyezi 6 ssaako n’ensako yaabwe.