MAYAMBALA EBYOMUSANGO GWA KYAGULANYI BIVEEKO – Kkooti Ensukulumu

MAYAMBALA EBYOMUSANGO GWA KYAGULANYI BIVEEKO;
Ekitongole ekiramuzi kivuddeyo nekigoba okusaba kwa eyali yesimbyeewo ku bwa Pulezidenti Eng. Willy Mayambala okwokweddiza omusango gwa Pulezidenti wa National Unity Platform- NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine gweyasuulawo mweyali awakanyiza okulangirirwa kwa Pulezidenti

Yoweri Kaguta Museveni nga ebula enaku bbiri enaku ezessalira ziggweko.
Omuwandiisi wa Kkooti Ensukkulumu Mukyala Harriet Ssali Nalukwago, agamba nti mu mateeka, Mayambala yalina okulabikako bwebaali bawoza okuggyayo omusango naye teyalabikako. Nga ebula enaku 3 zokka enaku 45 mwebalina okuweera ensala talinaawo mukisa gwonna ate teyabategeezaako.
Mayambala agamba nti yagezezaako okwogera ne Bannamateeka wabula bangi nebatya okuyingira mu musango guno.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply