Mariach akwatiddwa Poliisi ya Old Kampala

Munnakatemba Charles Kasozi Mariachi 30, wamu ne kanyama we Micheal Bunjo bakwatiddwa Poliisi lwakukuba nebalumya omusirikale wa Traffic nebayuza ne Uniform ye. Bano omusango baguziza ekiro ku ssaawa bbiri nga 30-june-2018 e Mengo.

Bano babadde batambulira mu motoka nnamba UAZ 127T nga bavugira ku ludda olukyamu mu kadde ka Jam omusirikale wa Traffic nga ono wa Poliisi yak u Old Kampala PC. Eldard Kamugisha nabalagira okudda emabega bayite awatuufu bbo nebalemera kukyokwagala okukozesa one way nti tebalina budde.

Omusirikale bweyasabye eyabadde avuga driving permit wamu ne card ye motoka Mariach wamu ne dereeva we ne bavaayo nebamukuba, nebamuvuma wamu n’omuyuriza uniform ye era bwatyo naddusibwa mu ddwaliro e Mulago.

Mariachi yamutegezeza nga bwesasula omusolo era nga asobola n’okumugobya ku mulimu nga akubye essimu emu yokka. Yamulagidde amuviire kuba yabadde amwononera obudde songa yabadde alina show e Masaka.

Bombi bakuumirwa ku Poliisi ya Old Kampala era nga baguddwako emisango 4 okuli okuvuga wamu n’okukozesa obubi oluguudo, okulemesa omusirikale wa Traffic okukola emirimu gye, okulumya omusirikale wa gavumenti, wamu n’okwonoona ekyambalo kya Gavumenti mubugenderevu.

Kino kituusewo nga omusirikale wa Traffic ennaku bbiri eziyise Cpl. Nnalongo Alice Nakandi bweyali ayamba ku Traffic Jam e Bugoloobi mu Junction yatomerwa owa Boda Boda naggwa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Eddwaliro ly’e Kawolo ligiddwako engalo