MABIRIIZI GWEWAWABIRA KYAGULANYI TUGUTUTTE – DPP

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Director of Public Prosecutions (DPP) yeddizza omusango ogwawabibwa Munnamateeka Male Mabiriizi gweyatwala mu Kkooti nga ayagala basazeemu empapula z’Omukulembeze wa National Unity Platform (NUP) Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ezobuyigirize mwagambira nti yewandiise okuyingira ku Mature Entry ng’emyaka tanagiweza.
Omulamuzi wa Kkooti ya Law Development Centre ow’eddaala erisooka Augustine Alule akirizza DPP okwezza omusango guno nga agujja ku Mabiriizi olwaleero.
Kino kizze oluvannyuma lwa Senior State Attorney Hanifa Kasana okutegeeza Omulamuzi nti DPP amulagidde bezze omusango guno.
Hon. Kyagulanyi talabiseeko mu Kkooti wabula asindise Bannamateeka be Geofrey Turyamusiima, Benjamin Katana ne George Musisi okumukiirira.
Bannamateeka ba Hon. Kyagulanyi bategeezezza nti Omuntu waabwe omusango yagutegeerera ku social media natafuna budde bumala okwetegeka.
Omulamuzi alagidde Mabiriizi okuwaayo obujulizi bwonna bwalina obukwatagana n’omusango guno eri DPP abuyitemu.
https://youtu.be/2zp-bWQGDnU
Share.

Leave A Reply