Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 345 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
Sports

MAAMA WA SSEKITOOLEKO AYOGEDDE, OMWANA YABADDE AYIIYA MBEERA

July 23, 2021 · Mubiru Ali
Maama wa Julius Ssekitooleko, omusituzi w’obuzito eyabula okuva mu nkambi e Japan, Juliet Nalwadda avuddeyo nategeeza Bannamawulire nti Mutabani we yali agezaako kuyiiya bulamu asobole okuyimirizzaawo famire ye.
Nalwadda agamba nti ono abadde talina wabeera nga ate alina omukyala ow’olubuto.
Kigambibwa nti Ssekitooleko e Japan yasangiddwa e Mie Prefecture nga talina buvune bwonna yadde okwenyigira mu kintu ekimenya amateeka nti era mu maka mweyagiddwa yabadde abamanyi.