LWAKI OLEMESA ABAZIRAKISA OKUYAMBA ABANTU ABAYINIKE – BARBIE KYAGULANYI

Muky. Barbie Kyagulanyi avuddeyo; “Enkya yaleero, natindizze olugendo okugenda ku Kikamulo Health Centre III mu Disitulikiti y’e Nakaseke okutwalayo ebintu byeddwaliro ku lwa Caring Hearts Uganda.
Hon. Allan Mayanja owa Nakaseke Central yabadde ategeezezza abakulu mu Disitulikiti eno okuli ne DPC wa Uganda Police Force Mr. Kwesiga John ne RDC Mr. Nayebale Kyamuzigita nga okusinziira ku Hon. Mayanja agamba nti tebalaga kugaana kwonna.
Nga mperekerwako Hon. Brenda Nabukenya (Woman MP, Luwero), Hon. Allan Mayanja (Nakaseke Central) ne Hon. Lukalidde Hassan Kirumira (MP, Katikamu South), twatuuse ku Kikamulo Health Center III netusangawo abebyokwerinda abawanvu n’abampi nga bakulemberwa DPC Mr. Kwesiga ne ba maama abalina embuto okubadde abavubuka abazze okufuna ebimu ku bintu byetututte.
Ababaka bwebavudde mu motoka zaabwe okwogera ne DPC, abasirikale be nebatandika okukuba teargas n’amasasi gyetuli wamu ne mu ddwaliro.
Kino kireeseewo akajagalalo nga ba maama, abaana n’abantu ababadde bazze nga bagoberedde ebiragiro ebigobererwa okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 nga badduka okutaasa obulamu.
Abakyala 2 balumiziddwa okubadde ne Munnamawulire wa NTV nga bakubiddwa obukebe bwa teargas wamu n’amasasi agakubiddwa okumpi newebabadde.
Banzigyewo mu motoka nebanvuga nga banzizza e Bombo nge ne Poliisi etogoberera. Bwetutuuse e Bombo netusanga abebyokwerinda nga basudde emisanvu egyamaanyi nga bazibye ekubo nebatulagira okudda gyetuva.
Batuwalirizza okukyuuka tugoberere abasirikale ababadde mu ngoye ezabulijjo nga batambulira mu motoka ekika kya Toyota Corolla enjeru.
Tuvuzeeko katono nebakyuusa ekirowoozo nebatulagire tukyuuke tuvuge nga tudda e Kampala. Kyetukoze era bwetutyo netutuuka e Kampala bulungi.
Ekyenaku batulagidde okuleka emotoka yaffe ebadde etisse ebintu ku ddwaliro. Abatuuze betisse ebintu ebimu nebabitwala nebabiteresa omu ku bakulembeze okuli ebidomola bya sanitizer, maternity beds, re-usable sanitary pads, ‘mama’ birth kits, jerricans of sanitizer, liquid soap, ssabbuuni, ebbaafu, n’engoye zabaana abawere. Ebimu ku bintu bino bibadde by’abaana abawala abafuna embuto oluvannyuma lw’amasomero okuggalwawo.
Kikwasa enaku okulaba nti abasirikale abalituwadde obukuumi ate bakola ebikolwa ebyobukambwe eri abantu abayinike bebandikuumye ate.
Kizibu okunnyonyola lwaki ogaana abazirakisa okutuusa obuyambi ku bantu abayinike.
Oluvannyuma lwabino byonna tukyayogerezeganya n’abobuyinza mu Disitulikiti eno okulaba nti ebintu bino bituuka ku bantu abalina okubifuna.”

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Mu kkomera e Luzira, abasibe benyigira mu mirimu egyenjawulo.

Mu kkomera e Luzira, abasibe benyigira mu mirimu egyenjawulo. ...

39 2 instagram icon
🔥🔥🔥Ekikadde Live 97.3 Kusimba Yogera Wotudde Osabe Nakayimba #SuremanSsegawa Atandise Kati Kati 
#RadioSimba973
#suremanssegawa

🔥🔥🔥Ekikadde Live 97.3 Kusimba Yogera Wotudde Osabe Nakayimba #SuremanSsegawa Atandise Kati Kati
#RadioSimba973
#suremanssegawa
...

13 0 instagram icon
Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Ababaka ba Palamenti MP Zaake Francis Butebi, Ttebandeke Charles n'abalala baleeteddwa mu Kkooti mu ya LDC okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.

Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Ababaka ba Palamenti MP Zaake Francis Butebi, Ttebandeke Charles n`abalala baleeteddwa mu Kkooti mu ya LDC okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. ...

27 0 instagram icon
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police  Patrick Onyango avuddeyo ku ttemu eryaliwo e Kyengera abantu 2 bwebakubwa amasasi agabattirawo nategeeza nti gwebakutte agambibwa okukuba amasasi gano agamba nti naye yali yetaasa kuba yali awambiddwa.

Bya Kamali James

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo ku ttemu eryaliwo e Kyengera abantu 2 bwebakubwa amasasi agabattirawo nategeeza nti gwebakutte agambibwa okukuba amasasi gano agamba nti naye yali yetaasa kuba yali awambiddwa.

Bya Kamali James
...

23 1 instagram icon
Abako bekulumuludde! Bwemubanga mwawukana obakungaanyanga nobategeeza!

Abako bekulumuludde! Bwemubanga mwawukana obakungaanyanga nobategeeza! ...

28 3 instagram icon
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Annet Among ayimirizza entuula za Palamenti zonna okutuusa nga 30 July 2024.

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Annet Among ayimirizza entuula za Palamenti zonna okutuusa nga 30 July 2024. ...

35 1 instagram icon