Lumiramwoyo yeyetulisizza mu bbaasi – CP Enaga

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo ku bbomu eyatulikidde mu bbaasi ya Kkampuni ya Swift Safaris olunaku lw’eggulo; “Tukakasa Bannayuganda nti wadde waliwo ebikolwa ebyobutitiizi ebyekitujju okuva mu bayekera ba ADF, ebitongole byebyokwerinda bibakakasa nti bikola kyonna ekisoboka okubakuuma wamu n’abagenyi abayingira mu Ggwanga.”
Bino Enanga abyogeredde mu Lukiiko lwa Bannamawulire nakakasa nti yabadde bbomu eyabwatukidde mu bbaasi e Lungala mu Disitulikiti y’e Mpigi.
Agamba nti eyafudde ye Matovu Isaac 23 nga ono yelumira mwoyo eyagitulisizza nga mutuuze mu Zone ya Kamuli A, Kireka nga mmemba wa ADF nti era abadde anoonyezebwa wabula nga bbo bamunoonye anga Mustafa.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply