Lukeman Mweijukye akuba ebifaananyi bya Bobi Wine agamba nti abamukwata bamukuba

Lukeman Mwijukye nga mukubi wabifaananyi ku ttiimu ya Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, alaze Kkooti ekiwundu kyeyafuna ku mutwe bweyali akwatibwa ku lwokusatu wiiki ewedde.
Mwijukye ategeezezza Kkooti nti ab’ebyokwerinda banyiga obusajja bwe nebawamba ne kkamera ye. Abavunaniibwa emisango gyonna bagyegaanye.
Munnamateeka waabwe George Musisi asabye kkooti ebatte ku kakalu kaayo. Bano bavunaanibwa emisango ebiri okuli okukuma mu bantu omuliro wamu n’okukola ebikolwa ebyobulagajjavu ebiyinza okuviirako ekirwadde ekyobulabe okusaasaana.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply