Kyonna ekituuka ku Besigye Museveni ggwe avunaanyizibwa – Famire ya Besigye

Aba Famire ya Lt. Col. Dr. Kizza Besigye bavuddeyo nebategeeza nga bwebafunye okusaba okuva eri ekitongole ky’amakomera ekya Uganda Prisons Service nga kisaba babasindikira omusawo wa Besigye. Bano okubadde; Winnie Byanyima, Edith, Olivia, Martha, Anthony ne Abraham babadde boogerako eri Bannamawulire olwaleero mu Kibuga Mbarara, nebategeeza nti kyanaku omuntu waabwe yawambibwa mu Ggwanga lya Kenya ate naleetebwa wano nebamuggalira mu bumenyi bw’amateeka.
Bano era balabudde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, nebategeeza nti kyonna ekinatuuka ku Besigye yakivunaanyizibwako. Bano basabye Bannaddiini wamu n’amawanga g’ebweru okwetegereza embeera eno nti era gateeke ku nninga Gavumnenti ya Uganda eyimbule omuntu waabwe.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply