kyaligonza tugenda kumuyita adde ku minisitule – oryem

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga Henry Okello Oreym avauddeyo nategeeza nga Ambassador wa Yuganda e Burundi HE. Maj. Gen. Matayo Kyaligonza bwagenda okuyitibwawo akomezebwewo ku Minisitule atandike okuwerereza awo.
Kinajjukirwa nti ku lw’okusatu lwa wiiki eno Palamenti yayisa ekiteeso nti ono akomezebwewo olw’okuweebula wamu n’okukuba omusirikale wa Poliisi y’ebidduka Sgt. Esther Namaganda bweyali n’abakuumi be.
Oryem agamba nti omuwandiisi ow‘enkalakkalira mu Minisitule y’ensonga z’ebweru w’Eggwanga yawandiikidde dda Kyaligonza nga ayagala amunnyonyole biki ebyaliwo. Oryem agamba nti oluvannyuma lw’okuddibwamu bakuwandiika alipoota eyawamu bagiweereze Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwo balyoke bamanye ekiddako.
Oryem agamba nti Ababaka bonna abasiwuuse empisa nga bali ki mirimu gy’Eggwanga emitongole bakomezeddwawo era nebaweebwa emirimu ku Minisitule nga balondolwa ebitagambika.
Oryem era agamba nti okunoonyereza bwekunaaba kuwedde Minisitule tejja kulonzalonza kuteeka munkola ekiteeso kya Palamenti.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Omumyuuka w'omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa.

Omumyuuka w`omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa. ...

68 8 instagram icon
Nze ntuusewo 🔥🔥🔥🤟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo 😂😂😂 Live Ku 97.3 
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa

Nze ntuusewo 🔥🔥🔥🤟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo 😂😂😂 Live Ku 97.3
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa
...

0 0 instagram icon
Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y'Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y'Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.

Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y`Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y`Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.
...

26 4 instagram icon
Mukyala w'Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n'maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu.
Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.

Mukyala w`Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n`maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu.
Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.
...

4 0 instagram icon

61 1 instagram icon