Sipiika Anita Annet Among; “Mu bintu nga bino nga bituuseewo, ffenna tulina okubeerawo okusobola okusiibula munaffe mu kitiibwa, bino temulina kubeeramu byabufuzi. Tetulina kutaabikiriza byabufuzi mu bintu byokufiirwa kuba tufiiriddwa munaffe leero nze enkya ajja kubeera mulala. Ffenna enkomerero kufa. Mbakubiriza mwenna okwagalana, mubeererewo bannammwe, musiime bannammwe nga temufuddeyo ku bunafu bwabwe, ekyo kyebajja okutujjukirako.”