Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 246 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Bobi Wine ayambalidde Wangadya owa UHRC

December 7, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ayanukudde Ssentebe w’akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC, Mariam Wangadya ku bigambo byeyayogedde olunaku lw’eggulo mu lukungaana lwa Bannamawulire.
Wangadya yalabudde ekibiina kya NUP okukomya okubabanja abantu baabwe kubanga bbo ng’ekitongole tebalina muntu n’omu gwebaali bawambye.
Ono yatuuse n’okutegeeza nti aba NUP batulugunya abantu baabwe ne bawaayiriza ebitongole ebikuuma ddembe nti okukyogerako baagala kukikuumira mu mawulire wabula kya kiwaani.
Kyagulanyi ategeezezza nti kyannaku okulaba Eggwanga nga liri mu mbeera bweti n’ategeeza nti tagenda kussa mukono kubanga akimanyi nti olunaku lugenda kukya nga bino tebikyaliwo.
Wangadya era yategeezezza nti abadde takimanyiiko nti waliyo abantu babulijjo abavunaanibwa mu Kkooti y’Eggye lya UPDF