Kkooti y’Amaggye egaanye Martha Karua kuba tali ku lukalala Besigye lweyawaayo

Munnamateeka Munnansi wa Kenya Martha Karua enkya yaleero aweereddwa satifikeeti eyekiseera emukiriza okubeera ku Bannamateeka ba Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye ne Hajji Obeid Lutale wamu n’okuwoza mu Kkooti. Wabula Ssentebe wa Kkooti y’Eggye lya UPDF Brig. Freeman Mugabe ono amugaanye nategeeza nti tewali buwandiike kuva eri abavunaanibwa Besigye ne Lutale nga bamukiriza okubeera omu ku Bannamateeka waabwe.
Mugabe ayongeddeko nti Besigye yabawa Bannamateeka 3 bokka okuli; Fredrick Mpanga, Apollo Katumba ne Ernest Kalibbala okuva mu AF Mpanga and Co. Advocates.
Wabula Besigye kino akiwakanyizza nategeeza nti yakiriza Bannamateeka abawerako okumukiikirira nti era bonna ayagala babeerewo mu Kkooti bawoze omusango ogumuvunaanibwa.
Leave a Reply