Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 477 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Bannamawulire abakwatiddwa babadde tebasobola kubawula ku bantu balala – Patrick Onyango

October 5, 2023 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police owa Kampala Metropolitan Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti embeera mu Kampala n’emiriraano nzikakamu era Bannayuganda bagenda mu maaso n’emirimu gyabwe nga mpaawo abataataganya.

Ono ayongeddeko nti ekyenaku bwebabadde bakola ebikwekweto, Bannamawulire 14 bakwatiddwa mukayise akavuyo mbu abebyokwerinda babadde tebasobola kubawula ku bantu babulijjo. Bano batwaliddwa ku Poliisi Entebe wabula oluvannyuma lwokubasunsulamu bayimbuddwa.

Onyango agamba nti bano webabeeredde ku Poliisi tewali Munnamawulire avuddeyo kwemulugunya nti yakubiddwa, wabula agamba nti oluvannyuma bafunye okwemulugunya nti waliwo abalumiziddwa nti era Poliisi netegefu okukola okunooyereza ezuule Bannamawulire ki abalumiziddwa.

Abaffe Bannamawulire kati ‘Press jackets’ tezikyakola batandike kwambala miteganswera Poliisi esobola okubawula ku bantu abalala?!