Kkooti e Nakaseke eyimbudde Munnakibiina kya NUP High Tower

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Kkooti e Butalangu mu Disitulikiti y’e Nakaseke eyimbudde omuwagizi wa National Unity Platform – NUP Geofrey Ongima aka High Tower ngono yakwatibwa okuva e Nansana ku bigambibwa nti y’omu ku baakuba Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Majembere bwebaali mu kuziika Jakana Nadduli ku kakalu kaayo.
Ssaabawandiisi wa NUP, David Lewis Rubongoya agamba nti ono webamuteeredde nga mukosefu era agenda kufuna bujanjabi.
Share.

Leave A Reply