Kkampuni y’emmwaanyi etalina yadde ekikolo ky’emmwaanyi mugiwa mutya obuyinza – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Kkampuni y’emmwaanyi etalina yadde ekikolo ky’emmwaanyi, musigansimbi atalina yadde ekikumi. Emmwaanyi tezirimibwa mu Buganda wokka era buli kitundu okuli Toro, Ankole, Teso n’ebirala biri mu kusattira olw’endagaano eno. Obwakabaka butadde amaanyi mangi mu kukunga abantu okulima ekirime ky’emmwaanyi era emyaka 7 egy’Emmwaanyi Terimba obungi bw’emmwaanyi ezikungulwa mu Buganda zeeyongedde awamu n’omutindo gwazo. Obwakabaka busibidde ku nsonga emu nti endagaano eno esazibwemu.” #BugandaLukiiko29

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply