Kkampuni eyabatwla Nakintu ku kyeyo nebamuggyamu ensigo bakwatiddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police ekivunaanyizibwa ku kunooyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID Charles Twiine avuddeyo nategeeza nga ba Dayirekita 5 aba Kkampuni etwala abantu ebweru eya Nile Treasure Gate Company bwebasimbiddwa mu Kkooti y’e Nakawa nabavunaanibwa emisango 4 egyokukusa abantu.
Kigambibwa nti 5 bano bekobaana nebaggya ensigo mu Edith Nakintu eyali atwaliddwa e Saudi Arabia okukola. Bonna bano basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 14-03-2022.
Bano kuliko; Kato Abubaker Suleiman, Muhammad Mariam, Sulamah Muhammad, Ali Hassana, Jennnifer Nalunga Milly.
Share.

Leave A Reply